Amawulire

Bafulumizza ebibinja by’omupiira gw’amasaza nga bweganasamba omwaka guno

Bafulumizza ebibinja by’omupiira gw’amasaza nga bweganasamba omwaka guno

Ivan Ssenabulya

May 10th, 2023

No comments

Bya Luke Mutesaasira. Akakiiko akavunanyiizbwa ku mpaka z’amasaza ga Buganda kataddewo ebibinja 3 eby’empaka z’amasaza ez’omwaka guno.

Mu kukwata obululu okwabaddewo olunaku lwa ggyo e Mengo, mu kibinja kya Muganzirwazza mutereddwamu essaza lya Gomba, Busiro, Mawokota, Ssese, Mawogola, ne Kabula.

Mu kibinja Masengere mulimu Buddu, Buwekula, Kyaggwe, Kyaddondo, Buluuli ne Kooki.

Ate nga mu kibinja Bulange muno mwojja okusanga e Saza Ssingo, Bulemezi, Butambala, Buvuma, Bugerere, ne Busujju.

Empaka z’omwaka guno zisubirwa okuggulwawo nga 24 ogw’omukaga omwaka guno.

Busiro yeyawangula ekikopo kino omwaka oguwedde bweyakuba Buddu 2-1 mu Muteesa II Stadium Wankulukuku.