Amawulire

Bafaki omukungu mu wofiisi ya ssabaminsita

Ivan Ssenabulya

March 13th, 2018

No comments

Bya Ruth Anderah

Omukungu mu wofiisi ya ssabaminista Bafaki Charles akwatiddwa akakiiko akanonyereza ku mivuyo gye ttaka, lwakunyomoola kakiiko kano.

Ssentebbe wakaiiko omulamuzi Catherine Bamugemereire yalagidde ono akwatibwe era atwaliddwa ku police ye Wandegeya anyonyole ku ttaka erisangibwa e Kyegegwa ku maka g’ababundabunda aga Kyaka One.

Bafaki akola ku byokutembenkeza abundabunda akwatiddwa lwabutayogera mazima ku ttaka eryo n’okuwa akakiiko ebiwandiko ebikyamu.

Ono bwabuziddwa ku bugazi bwe ttaka lino abadde tamanyi ekyewunyisiza ba commisona abatuula ku kakiiko kano.

Bino byona bize oluvanyuma lwabatuuze nga bakulembeddwamu Irumba Steven okwekubira endulu mu kakiiko kano nga bemulugunya kungeri ettaka lywbe gyerisenzeddwako ababundabunda.