Amawulire
Babiri bafiiridde mu bubenje
Bya Prossy Kisakye ne Ivan Ssenabulya, Abantu 2 bebafiridde mu bubenje obw’enjawulo .
Asoose afiiridde mu kabenje ka taxi number UAX 285/E Toyota Hiance e lugazi nga ebalumye ku mabbali gyebabadde batambuliira.
Okusinzira ku ssekamwa wa police mu bitundu bya Ssezibwa Hellen Butoto omugoba wa taxi nga ava kampala alemeredwa okusiba mu kulowooza nti abaddeko emotoka endala gy’abadde agenda okutomera kwe kusalawo okugiza emabbali gy’atomeredde abantu bano .
Omubiri gw’omugenzi n’abalumizidwa bitwalidwa mu ddwaliro elya Kawolo referral hospital.
Omulala afiiridde mu kabenje mu district ye kabale.
Omugenzi abadde yakazibwako lya Sitani nga abadde akola gyalejaleeja mu bitundu bye Muhanga nga akoonedwa emotoka ekika kya Ipsum no UAM 143K ku lugundo lwa Kisizi Muhanga mu district ye kabale
Poliisi omulambo egujeewo n’egutwalibwa mu ddwaliiro lya Kabale referral hospital okw’ekebejebwa n’emotoka sisibikwa kasiringi ya police okutwalibwa ku poliisi ye Muhanga police station okwekebejebwa.
Ssekamwa wa police mu bitundu by’e Kigezi Elly Maate ategezezza nga bwe babadde tebanafuna byogera ku mugoba wa motooka ekooze akabenje kano nga okunonyerezza kugenda mu maaso.