Amawulire

Babano abasajja sbawanyisa omuwala ow’emyaka 13

Babano abasajja sbawanyisa omuwala ow’emyaka 13

Ivan Ssenabulya

March 16th, 2021

No comments

Bya Juliet Nalwooga

Poliisi e Kyengera eriko abantu 4 begalidde ku misango gyokukusa abantu n’okusobya ku mwana omuto.

Omwogezi wa poliisi mu gwanga Fred Enanga agambye nti bafunye okwemulugunya ku bantu abazze babuzibwawo, ngomusango guno gwalopebwa Edirisa Kawoya, oluvanyuma lwa muwala we owemyaka 13 owa S1 oikubula.

Omwana ono yabula nga 2 March omwaka guno 2021.

Omwana ono kigambibwa nti yalimbibwa owa bodaboda ategerekeseeko erya Isaac Mulema, okuva mu maka gaabwe, namutwala ngamusubizza okumufunira omlimu.

Wabula omwana ono ate yamutwala eri Joseph Matovu, eyagandanga naye oluvanyuma namutwal ewa mwnayina Scovia Mbabazi okukola nga yaaya wawaka.

Wabula poliisi, omwana ono yamujje mu maka ga Julius Ogwang naye era abaddenga amausobyako.

Poliisi egamba nti okunonyereza ku musang guno kugenda mu maaso.