Amawulire

Babakutte N’amasanga Ge’njovu

Ivan Ssenabulya

June 18th, 2017

No comments

Bya Ivan Ssenabulya

Police mu district ye Amudat nga bali wamu nekitongole kya Natural Resource Conservation Network eriko abasajja babiri begalidde bwebakwatiddwa namasanga genjovu agaweramu kilo 49 nga gabalirirwamu ensimbi za kuno, obukadde 19 nomusobyo.

Poliisi ekutte ne mmotoka ya gavumenti ekika kya Double Cabin Hilux namba LG 0084-52 ebadde ekozesebwa.

Samuel Lokwale owemyaka 27 nga mulimi ne Edis Labatir owemyaka 32 nga Musumba, bonna bann-Uganda bebakwatiddwa nga batwala amasanga gano.

Okusinziira ku akulira ebyamateeka mu kitongole kya Natural Resource Conservation Network, Massa Leonard ategezezza nti bano kati baleteddwa e Kampala okubakunya oluvanyuma basimbibwe mu kooti.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *