Amawulire

Babakutte bategeka kwekalakaasa

Babakutte bategeka kwekalakaasa

Ivan Ssenabulya

April 27th, 2023

No comments

Bya Mike Sebalu. Poliisi mu Kampala ekutte ababaka abakyala aba Parliament ku ludda oluwabula gavumenti ababadde bekalakaasiza wabweru wa Parliament nga bavumilira ebikorwa eby’okubatulugunya n’okutyoboolebwa kw’eddembe ly’obuntu okusse nga kukolebwa abavunanyizibw aku by’okwerinda mu bitundu byebakiikilira.

Bano olunaku lwa ggyo bategeezezza banna mawulire nga bwebasisinkanye Speaker wa Parliament Anita Among, nebamusaba abakulemberemu mu kwekalakaasa kuno mu ngeri ey’e mirembe okulaga obutali bumativu n’engeri ababaka ba Gavumenti mu bitundu gyebakiikilira gyebakozesamu obuyinza bwabwe n’e bitongole ebikuuma dembe okubatulugunya nebatuuka n’okubalemesa okutegeka enkungaana mu bitundu byebakiikilira.

Bano batunuulidde omubaka omukyala owa Buvuma Suzan Mugabi ate nga negyebuvuddeko, omukyala owa Mityana Joyce Bagala Poliisi yakozesa omukka ogubalagala okumugumbulura bwebaali bategese olunaku lw’abakyaala  mu gombolola e Butayunja.

Bano webabakwatidde, babadde bategeka kutambula kufuluma kibangirizi kya Parliament boolekere ekitebe kya Minisitule evunanyiizbwa ku nsonga z’omunda mu gwanga n’oluvanyuma bagende ne ku Poliisi ne kubitebe by’ebitongole ebilala ebikuuma dembe basobole okwekubira enduulu.

Bano babadde banekedde mu gomesi ezirugavu nga bakulembedwamu atwala eby’amawulire n’okulwanyisa obukenuzi mu gavumenti ey’ekisiikirize Joyce Bagala.