Amawulire

Baasi za kampuni ya Link zikkiriziddwa okudda ku Kkubo

Baasi za kampuni ya Link zikkiriziddwa okudda ku Kkubo

Ivan Ssenabulya

May 13th, 2022

No comments

Bya Benjamin Jumbe,

Minisitule yenguudo, emirimu n’ebyentambula ekkiriza baasi za kampuni ya Link okuddamu okukola.

Minisitule yali yayimiriza kampuni eno nga 4 May 2022 oluvanyuma lwakabenje akagwa e Sebotilo ku luguudo oluva e Kampala okudda e Fort-Portal, nga kaafirmu abantu abali mu 20.

Bwabadde ayogera ne bannamawulire ku Media Centre mu Kampala, Gen Katumba Wamala agambye nti waliwo ebikoleddwa okutereeza okusomozebwa kwebazudde okwaliwo.

Agambye nti ne kapuni za bus endala bazekebejjezza, era zebakkirizza okukola zezijja okugenda mu maaso.