Amawulire
Ba ssentebbe bayombera ssente za sitampu
Bya Magembe Sabiiti
Ba ssentebe be byalo mu gombolola ye Kasambya e Mubende bakukulumidde ssentebe we gombolola eno Ndagize Kosamu olw’okubajako emitwalo 7 okubawa stamp.
Bano nga bakulembedwamu ssentebe we kyalo Bututi, Katongole Abali-Okwabwe bategezezza ngeky’okubajako ensimbi bwekibalemesezza okukukola emirmu gyabwe, ekivirideko nebasentebe abawangulwa okulemera stamp.
Wabula ssentebe ayogerwako Ndagize Kosamu atubulidde nti bano olwalondebwa nebakanya okuwaayo ssente zino emitwalo 7 okufuna stamp ezitukanya n’omutindo.