Amawulire

Ba sipiika bé bibuga basindikidwa ku alimanda

Ba sipiika bé bibuga basindikidwa ku alimanda

Ivan Ssenabulya

February 28th, 2023

No comments

Bya Ruth Anderah,

Abakubiriza bénkiiko mu kitongole kya Kampala Capital City Authority, bavunaaniddwa omusango gw’okwetaba mu lukung’aana olutali mu mateeka.

Bano balabiseeko mu kkooti ya Kampala City Hall omulamuzi Edgar Karakire nabasindika ku limanda okutuusa nga March 3rd 2023 lwe banaddamu mu kkooti okuwulira okusaba kwabwe okweyimirirwa.

Mu bano kuliko Kasozi Hamuza ow’emyaka 30, sipiika wa Munisipaali y’e Nansana era omutuuze mu Divizoni y’e Kawempe, Luba Lwanga Charles ow’emyaka 36, sipiika we Makindye, era omutuuze w’e Kasanga, Akampulira Justus ow’emyaka 30, sipiika wa divizoni y’e Kawempe nga mutuuze w’e Bwaise ne Yinginiya Naja Nasif ow’emyaka 33 nga mutuuze w’e Nabweru.

Oludda oluwaabi lugamba nti abavunaanibwa, nga February 27th 2023 bano nga basinzira ku Palamenti ya Uganda mu kwagala okutukiriza ebigendererwa byabwe beeyisa mungeri etasaana.