Amawulire

Ba nakyewa bagamba nti eddagala lya ssiriimu terimala

Ivan Ssenabulya

December 1st, 2017

No comments

Bya Moses Ndaye

Nga Uganda yegatta ku nsi yonna okukuza olunnaku lwa ssiriimu olwaleero, ministry yebyobulamu ekakasizza okwongera okubunyisa eddagala eriweweeza ku kawuka ka mukenenya okwetoola egwanga.

Abalwadde bakawuka mukibiina kyobwanakyewa Uganda Cares bino webijidde nga balajana olwe ddagala eriweweeza ku kawuka lyebagamba nti lyafuuka lya kekwa.

Wabula akulira ebyokulwanyisa mukenenya mu ministry yebyobulamu Joshua Musinguzi agamba nti wabaddewo okudirira nga kyava ku nsimbi okuva mu kitongole kya Global Fund, ezalwawo okutuuka.

Wabula ono akakasizza nti embeera eri mu nteeko, era bakutuusa eddagala wonna weryetagisa.