Amawulire

Ba Minisita abawerako bakwatiddwa COVID19-Sipiika

Ba Minisita abawerako bakwatiddwa COVID19-Sipiika

Ivan Ssenabulya

May 18th, 2023

No comments

Bya Ritah Kemigisa. Sipiika wa Parliament Anita Among ategeezezza nga bwewaliwo ba Minisita abazeemu okukwatibwa ekilwadde ki Covid19.

Sipiika agamba nti okulwa kwabano kitegeeza nti  bagenda kusubwa entuula eziwerako.

Ennaku ntono eziyise, ekitongole kyébyóbulamu mu nsi yonna kyalangilira nga ekilwadde ki Covid19 wekituuse bwekitakyasobola kusuza bantu nga bakukunadde.

Kati Sipiika ategeezezza ababaka enkya ya leero nga ekilwadde ki Covid19 bwekitandise okuddamu okweriisa enkuuli.

Kiddiridde akulira oludda oluwabula gavumenti mu parliament Mathias Mpuuga okulaga obutali bumativu nóbutabeerawo bwábamu ku ba Minisita nga nówébyensimbi mwomutwalidde naddala nga bakubaganya ebilowoozo ku bago elikwata ku ngabanya ya sente.