Amawulire

Ba kiwagi ba NRM bakusisinkana pulezidenti Museveni

Ba kiwagi ba NRM bakusisinkana pulezidenti Museveni

Ali Mivule

June 29th, 2015

No comments

File Photo:Bakiwagi ba NRM nga bali mu kooti

File Photo:Bakiwagi ba NRM nga bali mu kooti

Ababaka ba kabondo k’ekibiina kya NRM bayitiddwa ssentebe w’ekibiina mu maka g’omukulembeze w’eggwanga Entebbe okuteesa ku nsonga ya Mbabazi.

 

Ensonga endala eyokutunulwamu y’eyababaka b’ekibiina kino abaagobwa mu kibiina okulaba nga basobola okubazza.

 

wabula omukugu mu by’obufuzi bw’eggwanga okuva ku ttendekero ekkulu e Makerere Mwambusya Ndebesa agamba kano kazanyo akagendereddwamu okulaba nga ababaka bano abaagobwa tebegatta ku nkambi ya Mbabazi.