Amawulire

Ba kansala batekeddwa okubasaba S.6

Ivan Ssenabulya

March 23rd, 2018

No comments

Bya Samuel Ssebuliba

Abakiise mu lukiiko lwekibuga olwa KCCA batanudde okubanja nate nti etteeka lyekibuga likolebwemu ennongosereza, okulinyisa obuyigirize obwetagisa omuntu okufuuka kansala okutuuka ku  A-level oba S 6.

Bano nga bakulembeddwamu kansala we Kyambogo Bruhan Byaruhanga, babadde balabiseeko mu kakaiiko ka palamenti akenonga zobwa presidenti nebategeeza nti kikulu kansala wa KCCA nowa division okubeer abayigirizeeko wakiri okutuuka ku ssinya eyomukaaga.

Kanasala wamasekati gekibuga mu lukiiko olwa waggulu Fatumah Nsereko agamba nti obunaffu mu buyigirize bulabikira mu mitawaana egibaawo mu kuteesa.