Amawulire

Ba kansala beyawudde- Bivudde ku bukiiko

Ali Mivule

March 4th, 2014

No comments

Luyiga

Bakansala b’oludda oluvuganya gavumenti beekandazze nebafuluma olukungaana olubadde luyitiddwa minista wa Kampala Frank Tumwebaze  okukubaganya ku biseera bya kampala eby’omu maaso.

Minisita abadde yayise ba kansala bano berondemu obukiiko obunatambuza  emirimu awatali loodi meeya mu KCCA.

Bano nga bakulembeddwamu kansala wa  Makindye ey’obugwanjuba  Zahara Luyirika  nga bagamba ekifo  webasisinkanye ssi kituufu.

Ye minista  Tumwebaze ategeezezza ng’akawaayiro 17 mu tteeka  lya KCCA ,bwekamuwa obuyinza okuteeka bakansala bano mu bukiiko okusobola okutambuza emirimu gyaabwe.

Ensisisnkano eno ebadde ku ofiisi y’omukulembeze w’eggwanga, bbo ba kansala kyebawakanyizza ddala .