Amawulire
Ba crime preventers balemedeko kuze mmere
Bya Damali Mukhaye, Ba crime preventers abaakola omulimu gw’okuwa poliisi emeere okwetolola eggwanga wakati w’omwaka 2015 ne 2017 bawadde poliisi nsalensale wa nnaku 5 nga basasudwa ensimbi zaabwe.
Mu kwogerako mu lukugana lwa banamawuliire mu Kampala bano wansi w’omukaago gwabwe national crime preventers bagamba batukirirwa aba Exodus SACCO mu kiseera ekyo abalina contract ne babasaba okukola omulimu ogw’okuliisa poliisi ku biragiro byeyali ssabapoliisi , Gen Kale Kayihura, kyokka ne gyebuli kati tebabasasulanga.
Sentebbe w’ekibiina kino Ronald Rwamakuba agamba bawera abantu 2,000 nga n’ensimbi zebabanja zilyeyo mu buwumbi 14.
Kati agamba singa lutuuka ku bbalaza sabiiti ejja nga tebafunye nsimbi zaabwe bakwekuganya mirembe bolekeere ku kitebe kya police e Naguru.
Bano emeere gye bagabirira poliisi kwaliko akawunga,omuceere,ebijanjaalo,amatooke ,amata ne sukaali.
Wabula ssekamwa wa police Fred Enanga atubulidde nga bano bwe batalina contract na poliisi nga bakolagaana naba Exodus Sacco nga bebalina okusasula sossi police.