Amawulire
Ateberezebwa okutta omutuuze naye bamusse
Magembe sabiiti, Abatuuze ku kyalo Bulima mu gombolola y’eKitenga e Mubende bavudde mu mbeera ne bakira munaabwe Musinguzi Joseph ow’emyaka 30 ne bamukuba emiggo egimusse nga bamutebereza okutta munaabwe Byabashijja Banabaasi.
Okusinzira ku Ssentebe we kyalo Bulima Ssanyu Lajabu ategezezza ng’omugenzi Byabashijja bweyattiddwa olunaku lw’eggulo omulambo gwe ne gusuulibwa mu kitoogo kyokka ng’abadde n’obutakanya ne Musinguzi Joseph ekyavirideko abatuuze okutta Musinguzi Joseph nga bamutebereza okutta munaabwe.
Poliisi e Mubende egyewo emirambo gyombi n’egitwalibwa mu ddwaliro e Mubende okwekebejebwa nga n’okunonyereza ku b’enyigidde mu ttemu lino bwe kugenda maaso.