Amawulire

Ateberezebwa okuba omubbi attiddwa mu bukambwe

Ateberezebwa okuba omubbi attiddwa mu bukambwe

Ivan Ssenabulya

March 6th, 2023

No comments

Bya Gertrude Mutyaba,

Ekikangabwa kibuutikidde abatuuze ku kyalo Namusujja mu Ggombolola ye Bukulula mu district ye Kalungu abakuumi b’omugagga Abasi Katongole abakola mu Farm ye bwebakakanye ku mutuuze Abdalah Kibirige nebamutemetema mu bukambwe ne bamutta nga bamuteebereza obubba enkota ye
tooke.

Kibirige bamutemyeteemye omubiri gwona nebimu ku bitundu by’omubiri nebabikutulakutula.

Abatuuze abeerabiddeko naagabwe bavumiridde ekikolwa kino

Ssentebe we gombolola ye Bukulula, Bazadde Kaweesi avumiridde ekikolwa kino era naasaba abatuuze bakyewale kyokka naategeza nti n’obubbi bususse mu Kalungu.

Kaweefube waffe ow’okufuna Omugagga nnyini faamu n’abakuumi be abagambibwa okutta omugenzi agudde butaka.