Amawulire

Asudde omwana mu kabuyonjo

Ali Mivule

May 22nd, 2017

No comments

Bya Shamim Nateebwa

Poliisi ye Kajjansi eggalidde yaaya eyazadde omwana n’amusuula mu kaabuyonjo.

Sophia Nassonko, owemyak abadde akola obwayaaya eBweya  nga n’okumukwata kyaddiridde omutuuze eyabadde agenze emmanju okuwulira omwana akaabira mu kaabuyonjo.

Poliisi yayitiddwa nemunyulula ne kizuulwa nga wa Nassonko.

Nassonko mukwewozaako agambye nti yamusudde kubanga tamanyi kitaawe nga yasobezebwako n’afuna olubuto.

Agguddwaako omusango ku fayiro SD: 58/18/05/2017.

Bbebi yasoose kutwalibwa ku Doctors’ Clinic e Sseguku okufuna obujanjabi wabula oluvanyuma natwalibwa e Mulago okwogera okwekebejebwa.