Amawulire

Asse omwana we

Asse omwana we

Ali Mivule

August 12th, 2015

No comments

File Photo: Police nga eteeka omuntu kukabangaali

File Photo: Police nga eteeka omuntu kukabangaali

Poliisi eriko omusajja gw’ekutte lwakutta mwana we.

Omusajja ono atabudde asidi mu ddagala n’aliwa omwana we ow’emyaka omusanvu era n’afa.

Omwana ono ategerekese nga Yanik Hirwa attiddwa kitaawe enzaalwa ye Rwanda ategerekese nga Masapo Maliseri.

Okunonyereza kwa poliisi kulaze ng’omwami ono abadde yayawukana ne mukyala we era ng’abadde amuleka ewaka n’agenda okukola.

Kigambibwa okuba nti omusajja ono yakomyeewo nga omwana mulwadde era mu kumwetamwa n’amuwa eddagala ly’atabuddemu asidi.

Ayogerera poliisi mu kampala n’emiriraano Patrick Onyango atugambye nti omwami ono oluvanyuma lw’okukakasa nti omwana yabade afudde yasazeewo okudduka , era nga bamukwatidde Mbarara ng’adda waabwe e Rwanda.