Amawulire

Asse Mukyala we Bwamusanze Nga’nyumya Akaboozi N’omusajja Omulala

Ivan Ssenabulya

May 14th, 2017

No comments

Bya Ivan Ssenabulya

Police mu district ye Busia eriko omusajja gwegalidde lwakutta mukyala ngamulanga bwenzi.

Omukwatte akumibwaku ku CPS e Busia nga kitegerekese nti asanze mukyala we nganyumya akaboozi nomusajja omulala mu nnyumba ye, ekimujje mu mbeera namukuba akamaeeza ne jinja okutuuka okumutta.

Bino bibaddewo mu kiro ekikesezza olwaleero ku kyalo Madowa mu ggombolola ye Majanji mu district ye Busia.

Omugezi ategerekesse nga Doreen Nafula abadde aweza emyaka 21, nga ye omusajja gwebamukutte naye ataddeko kakokola tondeka nnyuma poliisi emuyigga.

Omwogezi wa police mu bitundu bye Budeki Sowedi Kamulya akakasizza amawuliire gano nategezza nga Omukwatte bwagudwako omusango gwo’butemu ngakumibwa ku poliisi e Busia.

Omulambo gw’omugenzi gutwaliddwa mu ddwaliro lye Masafu okwekebejebwa.

 

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *