Amawulire

Asse gw’akutte ne muwalawe naye bamukutte

Ali Mivule

June 6th, 2017

No comments

Bya Abubaker Kirunda

Poliisi ye  Kaliro ekutte abantu 2 abagambibwa okutta omuvubuka ow’emyaka 15 agambibwa okusobya ku muwala ow’emyaka 13.

Abakwate ye  Alex Mukisa myaka 45 nga ye taata w’omuwala eyasobezeddwako wamu ne mutabaniwe Jackson Kasubi bonna nga batuuze ku kyalo  Sinda mu gombolola ye Gadumire .

Poliisi egamba abakwate bano baatuze  Grace Kasadha nebamuta oluvanyuma lw’okumukwata lubona nga ali ku kawala akagagambula obumuli.

Akulira okunonyereza ku buzzi bw’emisango ku poliisi ye Kamuli David Agi ategezezza nga bwebaatuuse mu budde okutaasa abakwate bano ku babatuuze abaabakyukidde nga baagala okubatta olwokutta omulenzi era enyumba zaabwe zaakumiddwako omuliro.