Amawulire

Anywar alumbye aba FDC- Mumboola

Ali Mivule

November 30th, 2015

No comments

Omubaka omukyala ow’e Kitgum Beatrice Anywar alumbye olukungaana lw’ekibiina kya FDC nga ayagala ssenkaggale w’ekibiina kya FDC amubulire lwaki ekibiina kyamusulawo.

 

Anywar kati ayagala kuvuganya ku kifo ky’omukiise omujuvu owa disitulikiti ye Kitguma.

 

Kino kiddiridde eyali akulira abayizi ku sstendekero w’e Makerere  Denis Onekalit okuweebwa tikiti y’ekibiina okuvuganya ku kifo kyekimu.

Annywa  yemulugunya nti abakulembeze ba FDC kati bamuvuddemu.

 

Kinajukirwa nti Anywar yawagira munnakisinde kya G0-Forward Amama Mbabazi mu lujudde nga agamba nti akwatidde ekibiina kya FDC bendera Kiiza Besigye kati zino enfunda 3 nga yesimbawo n’agwa kale nga kyekiseera abalala besimbewo nga ye takyesigika.

 

Ssenkaggale w’ekibiina kino Maj Gen Mugisha Muntu asuubizza okutunula mu nsonga ze.