Amawulire
Anite agamba bagala kumutta
Bya Prosy Kisakye
Minister omubeezi avunyizibw ku by’okusiga ensimbi Evelyn Anite ategezezza nga bwewaliwo, ba mafia abatisatiisa okutuusa obulabe ku mulamu bwe munda mu kitongole kya UTL.
Bino abitegezezza banamawulire batuuzizza mu Kamapala, ngagambye nti okuva lweyakalambira wabeewo okunonyereza ku mirmu gyomukutu gwe gwanga ogwebyemuliziganya waliwo ababaddenga bewera okumutta.
Agambye nti waliwo abalumika essimu ye nga waliwo nabamusindikira obu-messegi ku ssimu ye.
Anite kati agambye nti agenda kuwnadikira ssabapoliisi we gwanga, okumutegezaako.