Amawulire

An’abba ez’amasiro njakumunyoola omukono-Katikkiro

Ali Mivule

February 10th, 2014

No comments

KATIKKIRO AGAIN

Katikkiro wa Buganda Ow’ekitiibwa Charles Peter Mayiga aweze okufafagana n’omuntu yenna anemolera ku nsimbi z’obwakabaka bwa Buganda.

Katikiro ategezezza nti abantu ba SSabasajja befiirizza bingi okusonda ensimbi okudukanya emirimu mu bwakabaka bwa Buganda nga tagenda kuttira Muntu yenna ku liiso anakwatibwa nga azzemu engalo ey’omukaaga

Bwatuuse ku nsimbi z’amasiro ategezezza nga akawumbi akasoba mu kalamba bwekakasondebwa  era nazino nawera okufiira ku Muntu anawuwuwntanaya ko yadde ekikumi.

Katikiro era ayanjuludde enteeketeka eyemyaka etaano ejijja maaso enayitibwamu okukulakulanya obwakabaka bwa Buganda.

Bino Katikiro abyogeredde mu Lukiiko lw’omwaka guno wali e Bulange Mengo.