Amawulire

Amyuka Ssentebe w’ekibitongole ekitekatekera egwanga afudde.

Ivan Ssenabulya

October 5th, 2017

No comments

Bya Ben Jumbe.

Olwaleero egwanga likeeredde kumawulire gakufa kwa Dr Abel Rwendeire nga ono yabadde amyuka akulira ekitongole ekikola ogwokutekatekera egwanga ekya National planning authority.

Ono era yeyakuliramu akakiiko akaatekebwawo President okunonyereza ku nsonga ze Makerere, wabula nga waafiridde nga alipoota eno tenatuuka mu maaso ga president eyabatuma.

Ono ajukirwa nyo nga eyaliko omubaka we Rubanda East constituency wakati wa 1996 ne  2002.

Yaliko minister omubeezi mu ministry y’ebybusubuzi wakati wa 1996-1998, kko n’ebyenjigiriza wakati wa 200-2001.