Amawulire

Amyuka ssabalamuzi alagidde

Amyuka ssabalamuzi alagidde

Ivan Ssenabulya

August 27th, 2019

No comments

Bya Ruth Anderah, Omulamuzi wa Kkooti ejjulirwamu Alphonse Owiny Dollo alagidde ekitongole ky’amakomera okuyimbula Amir Kinene oluvannyuma lw’okutegeezebwa nti ono akyakuumirwa e Luzira mu bukyaamu kuba yejeerezebwa emisango gy’obutemu n’obutujju mu 2017.

DCJ Alponse alagidde ateebwe oluvannyuma lw’omuwaabi wa Gavumenti okutegeeza nti talina misango gyamuvunaana.

Moses Ssentalo OC Luzira Upper Prison agamba nti yafuna remand warrant eya Kinene ku misango gy’okuyamba abayekera ba ADF, omusango gwebagamba nti yaguzza mu 2015. Wabula State Attorney Lillian Omara ategeezezza Kkooti nti emisango gino gyasuulibwa DPP navunaanibwa emirala egyamugibwako.

Omulamuzi alagidde Abamakomera okwatagana ne DPP balabe basabe ki bebakyalina ku alikanda nga bateebwa.