Amawulire

Amyuka Sipiika simusanyufu kungeri abayizi abaliko obulemu gyebakolamu

Amyuka Sipiika simusanyufu kungeri abayizi abaliko obulemu gyebakolamu

Ivan Ssenabulya

February 1st, 2023

No comments

Bya Prossy Kisakye,

Omumyuka wa sipiika wa palamenti, Thomas Tayebwa asabye minisitule y’ebyenjigiriza okunnyonnyola ensonga lwaki abayizi abalina obuzibu bw’okulaba tebaakola bulungi mu bigezo bya PLE ebyafulumizibbwa gyebuvuddeko.

Mu lutuula lwa leero, Tayebwa ategeezeza ne bikozesebwa okulaba nti abayizi bano bakola bulungi tebabifuna.

Abaliko obulemu 2,316 be baawandiisibwa okutuula ebigezo bya pulayimale eby’omwaka oguwedde kyokka bangi kubo ne balemererwa okuyita.

Ku ntandikwa ya wiiki eno, ekibiina ekigatta bakiggala mu ggwanga ekya Uganda National Association of the Deaf (UNAD) nakyo kyalaga obwennyamivu olw’omuwendo gw’abayizi abalina obuzibu mu kuwulira ogweyongera okugwa ebigezo.

Okusinziira ku kibiina kino, omwaka oguwedde, abayizi bakiggala 263 baatuula PLE, ku bano 116 baaggwa, 50 ne bayita ne divizoni eyookubiri, 41 mu divizoni eyokusatu ate 56 mu divizoni eyokuna nga kitegeeza tewali kiggale yafuna bubonero buna.