Amawulire

Amuriat ne Nandala basunsuddwa

Amuriat ne Nandala basunsuddwa

Ivan Ssenabulya

September 21st, 2023

No comments

Bya Damali Mukhaye,

Akakiiko k’ebyokulonda ak’oludda oluvuganya gavumenti aka Forum for Democratic Change (FDC) akawungeezi ka leero kasunsudde senkagale wekibiina Patrick Amuriat ku kifo kye kimu.

Era mu balala abasunsuddwa ye Jack Sabiiti eyegwanyiza ekifo kya ssentebe w’ekibiina ate

Ssaabawandiisi Nandala Mafabi avuganya ku kifo kye kimu.

Okyukyusa obukulembeze mu FDC kwakubaawo nga 6th October mu Tabamiruka wékibiina.

Nandala mu kwogerako eri abamawulire amangu ddala nga yaakasunsulwa, yagambye nti yali ayagala kuvuganya ku bwa pulezidenti bw’ekibiina kyokka neyekyusa nasalawo okudda kubwa ssabawandiisi.

Mafabi akiggumiza nti ye ne ttiimu ya Najjanankumbi bakkiririza nnyo mu demokulasiya so si byabufuzi bya mugongo era y’ensonga lwaki yalondebwa mu 2015 ku bwa Ssaabawandiisi era okuva olwo abadde akola n’obunyiikivu.

Bano abasatu basunsuddwa wakati mu ddoboozi ery’omwanguka okuva mu kibinja ky’abawagizi abakungaanidde e Najjanankumbi akawungeezi ka leero.