Amawulire

Amuriat asekeredde abogerera FDC

Amuriat asekeredde abogerera FDC

Ivan Ssenabulya

March 10th, 2023

No comments

Bya Prossy Kisakye,

Ssenkangale w’ekibiina ky’’ebyobufuzi ekiri kuludda oluvuganya ekya Forum For Democratic Change (Fdc) Eng Patrick Amuliat Oboi asekeredde abantu abalowoza nti ekibiina kino kyagwamu, nagamba nti Fdc yazimbibwa kumusingi omugumu ddala nebwebuliba ddi kirikwata obuyinza.

Amuliat bino abadde mu katale ke Nakawa ku yafeesi za Fdc, abakulu mu kibiina kino okubadde Ssabawandiisi wekibiina Nandala Mafabi, Omumyuka wa Loodi Mmeeya wa Kampala Doreen Nyanjula, akulira abakyala ba Fdc Farida Nangozi nabalala  bwebabadde baliko bannabyafuzi 50 bebaniriza okwegata kukibiina.

Amuliat ategezeza abegase ku Fdc nti bakoze okusalawo okutuufu kuba  gavumenti eri mu buyinza yava dda kumulamwa tekyalina biriwozo bizimba ggwanga lino, yensonga lwaki beeyagaliza bokka nanokolayo amabaati ge Karamoja abanene ge begabanya.

Yye Ssabawandiisi wekibiina Nandala Mafabi yebaziza nnyo omulimu ogukoledwa Ssentebe wekibiina kyabwe e Nakawa Lord Councilor Moses Mugisha Okwera ogw’okukunga n’okwogereza bannabyafuzi abalala okusala eddiiro nebegata ku Fdc, era nasaba ne bassentebe ba fdc mu bitundu ebirala okumulabirako.