Amawulire

Amuriat asabye gavt ku ndagaano ya Maputo mu kutumbula ebyóbulimi

Amuriat asabye gavt ku ndagaano ya Maputo mu kutumbula ebyóbulimi

Ivan Ssenabulya

December 19th, 2022

No comments

Bya Prossy Kisakye,

Senkagale w’ekibiina ekivuganya gavumenti ekya Forum for Democratic Change-FDC, Patrick Amuriat asabye gavumenti okutuukiriza endagaano ya Maputo protocal eya 2003 okusobola okukola ku bbeeyi y’emmere erekanamma ensangi zino.

Mu ndagaano ya Maputo gavumenti za mawanga zeeyamye okuwaayo ensimbi ebitundu 10% ku mbalirira y’eggwanga okukulaakulanya ebyobulimi n’ebyalo.

Bw’abadde awa obubaka bwe obumalako omwaka ku kitebe ky’ekibiina e Najjanankumbi, Amuriat agambye nti Bannayuganda bafunye obuzibu obw’amaanyi mu mwaka ogukomekkerera omubadde ebbeeyi y’emmere n’ebbeeyi y’amafuta ebiri waggulu.

Agambye nti obuzibu buva ku gavumenti eri mu buyinza okulemererwa okutukiriza obweyamo bw’ensi yonna ebitundu 10% eri ekitongole ky’eby’obulimi okulaba nga waliwo obukuumi bw’emmere mu ggwanga.

Mungeri yeemu Amuriat avumiridde amabanja ga Uganda agagenda geeyongera ekivuddeko ensimbi zómuwi w’musolo ezisinga obungi okudda kukusasula amabanja mu mbalirira y’eggwanga.

Ebbanja lya uganda kati liri ku busse bwa UGX 79 ekivvuunulwa nti omugugu gw’amabanja ku buli munnauganda galina okusasula ga kakadde kamu ne mitwalo 8.