Amawulire

Amukubye lwabutagyaamu lubuto

Ali Mivule

June 5th, 2013

No comments

Omusawo w’ekinnansi agambibwa okukuba mukazi we katono amumize omusu ng’amulanga kugaana kugyamu lubuto , aliira ku nsiko.

Poliisi nayo erumiriza nti tagenda kugumaza mbiro era baatandise dda okumuwenja obuseenene.

Musa Othieno omutuuze ku kyalo Lugazi mu District y’e Buikwe yasakase mukaziwe Dorothy Batenga emiggo egyamututte ku kitanda mu ddwaliro e Kawolo.

Okusinziira ku Batenga, bba gwalinamu abaana abasatu, amaze wiiki bbiri ng’amutulugunya lwa kugaana kugyamu lubuto olw’emyezi omusanvu lw’alina.

Agamba nti bba yamugamba agyemu olubuto kubanga takyayagala kumuzaalamu baana.

Oluvanyuma lwokugaana yatandika okumukuba okutuusa omuzira kisa lwe yatemezza ku poliisi n’etandika okumuyigga.

Akulira ekitongole ky’amaka ku poliisi y’e Lugazi Mitchell Teriteitu agamba nti webakwatira ku musajja ono wonna, bamutwala mu kaduukulu n’oluvanyua mu mbuga z’amateeka abitebye.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *