Amawulire

Amos Nzeyi atandise okwenyonyola ku by’okubba etaka.

Amos Nzeyi atandise okwenyonyola ku by’okubba etaka.

Ivan Ssenabulya

August 8th, 2018

No comments

Bya Ruth Anderah

Kyadaaki  Nagaga Amos Nzeyi alabiseeko mu kakiiko akanonyereza kumivuyo  gy’etaka, nga eno gyagenda okunyonyolera butya bweyaguza NSSF e taka wano e  Tamnagalo kyoka nga akimanyi nti siyenanyini

Mukutuuka mu kakiiko kano Nzeyi azze ne munamatekaawe a Fred Muwema, nga ono yeyategeeza akakiiko nga Nzeyi  bweyali e bweru we gwanga , kyoka enkeera nalabikira ku TV nga yetabye ku mbaga y’amuwala wa Amama Mbabazi.

Ono okuyitibwa kwa Nzeyi kyadirira Family y’abayindi okuvaayo nga egamba nti etaka lino balirinako liizi  ya myaka 79 okuva mu mwaka 1944 , kyoka president Amin bweyabagoba mu mwaka 1972 baagenda okudda nga Nzeyi etaka lyabwe alitutte, era mu 2009 naliguza aa NSSF .

Mubyeyakanyonyola Nzeyi agambye nti oluvanyuma lw’okugenda kw’abayindi bano kyandiba nga  eyali nyini taka lino era eyali aligizuzza abayindi Daniel Mugwanya Kato ate yaddamu n’alyediza , kubanga naye yagula kuyye.

Ono ategeezeza nt etaka lino lyali mu bitundu-tundu, are yagenda aligula mpola okutuusa lweyaweza yiika 366 ezogerwako.