Amawulire

Among alabudde ababaka ku ndagaano y’e mmwanyi

Among alabudde ababaka ku ndagaano y’e mmwanyi

Ivan Ssenabulya

May 18th, 2022

No comments

Bya Wadero Auther,

Omukubiriza wa palamenti Anita Among akoze okulabula eri ababaka ba palamenti, obutava mu mbeera okutabangula olutuula lwaleeronga bateesa ku alipoota ekwata ku ndagaano yemnwayi.

Agambye nti yakitegeddeko nti waliwo abategeka okutabangula olutuula lwalero, naye bakyewale kubanga abetegekedde okubakwatako nomukono ogwekyuma.

Ategezezza nga bwewaliwo abategese okuyingiza obujoozi okujagalaza palamenti, nga balaga obutali bumativu bwabwe.

Ababaka babadde bamaze wiiki 2 nga balindirirra alipoota eyava mu kunonyereza kwakakiiko akebyobusubuzi nebyobulambuzi, akakubirizbwa omubaka Mwine Mpaka.

Okunonyereza kubadde kwaggwa nayenga babanja alipoota nga tebajanjula mu palamenti.

Endagaano eyogerwako yakolebwa wakati wa gavumenti ne kampuni ya musiga nsimbi, Uganda Vinci Coffee Company Limited (UVCC) wabula abasing bagiwakanyizza nti egenda kunyigiriza abasigadde abali mu mulimu guno.

Among era alabudde navumirira nebyakoleddwa ku minisitawa sayansi ne tekinologiya Dr Monica Musenero.

Ono yalabiddwako nga mubaka munne mamwambalidde, okumwerera nokumulumiriza okwekobaana ne gavumenti okubba ssente, obuwumbi 31 ezaali ezokunonyerza nokuvumbula eddagala erigema nokujanajaba COVID-19.