Amawulire

Among agamba yafuna okutiisibwatiisibwa mu kuyisa etteeka ku Bisiyaga

Among agamba yafuna okutiisibwatiisibwa mu kuyisa etteeka ku Bisiyaga

Ivan Ssenabulya

March 23rd, 2023

No comments

Bya Arthur Wadero,

Sipiika wa Palamenti Anita Among, ategezeza nga bweyafuna obubaka obumutiisatiisa mu kwetegekera okuyisa ebbago lye teeka erirwanyisa ebisiyaga.

Palamenti ku Lw’okubiri yayisizza ebbago lino, n’ereeta ebibonerezo ebikakali omuli okuttibwa singa osangibwa nga wenyigidde mu kulya ebisiyaga abatanetuuka, wamu n’okusibwa emyaka 20 olw’okulya ebisiyaga, okutumbula ebisiyaga, nókutendeka abaana muzze guno.

Bwabadde mu kusabira omwoyo gwomugenzi Jacob Oulanyah gweyadira mu bigere kubwa sipiika, omukolo ogubadde ku Palamenti enkya ya leero, Among agambye nti yawalirizibbwa okuggyako amasimu ge ngésigadde essaawa ntono  akubirize olutuula lwa palamenti mwe bayisiza ebbago lino eryaleetawo okusika omuguwa okuva mu bantu abamu.

Wabula akkaatirizza nti okutiisatiisa ng’okwo tekugenda kukendeeza ku bwetaavu bwa Palamenti okukuuma empisa za Bannayuganda.

Sipiika asiimiddwa ekitundu ekinene ku babaka ba palamenti olw’okulaga obuvumu ebbago lino neliyita.