Amawulire

America eyagala alipoota ku bantu abattibwa mu kulonda

America eyagala alipoota ku bantu abattibwa mu kulonda

Ivan Ssenabulya

September 24th, 2021

No comments

Bya Ivan Ssenabulya,

Eggwanga lya America litadde gavumenti ya wano kunninga okufulumya alipoota ekwata ku bikolwa ebyokutyoboola eddembe lyobuntu nókutta abantu ebyeyolekera mu kalulu akaaliwo kuntandikwa y’omwaka guno.

Abantu abasoba mu 50 bebalusulamu akaba mu kwekalakaasa okwaliwo mu mwezi gwa musenene omwaka oguwedde, abawagizi ba senkagale wekibiina kya NUP, Robert Kyagulanyi, bwebava mu mbeera ne begugunga nga bawakanya ekya poliisi okumukwata bweyali agenze okunonya akalulu mu disitulikiti eye Luuka.

Abobuyinza bagamba okunonyereza ku byaliwo byonna kwakolebwa wabula alipoota bakyagitulidde.

Mu kwogerako nomukutu gwa mawulire ogwa NTV ambassador wa America mu Uganda Natalie Brown azeemu nasaba abali mu buyinza okufulumya alipoota eno mu bwangu.

Ono agamba nti kino kyakuyambako okuleetawo obwerufu nokutuusa obwenkanya eri abakosebwa.

Emyezi kati giweze 10 bukya bwegugungo bwa 18/19th November 2020 bubaawo

Ngennaku zomwezi 17th May 2021, olupapula lwa Daily Monitor lwafulumya amawulire ku bikwata ku alipoota eno eyali esomoddwa nga galaga nti abantu 11 abattibwa mu kwekalakaasa kuno baali bekalakaasi kyokka abalala 42 battibwa mu butanwa.