Amawulire

America erabudde Okukaliga Uganda

America erabudde Okukaliga Uganda

Ivan Ssenabulya

February 24th, 2021

No comments

Bya Ritah Kemigisa

Egwanga lya America, lilabudde okukaliga Uganda, naddala ku bakungu ssekinoomu abavunayizbwa ku bikolwa ebityoboola eddembe lyobuntu nebiralala ebirumira, ebyetobeka mu kulonda kwa bonna okuwedde.

Omwogezi wkeitongole ekikola ku nsonga ze gwanga lino namawanga amalala, Ned Price agambye nti okulonda kwanga 14 January 2021 kwalimu ebikolwa ebitayogerekeka, okwali okutyoboola eddembe lyobuntu nokukozesa obubi wofiisi naddala abebitongole eboikuuma ddembe.

Mu bamu ku bakosebwa bebaali besimbyewo, ebitongole byobwanakyewa nabantu babulijjo.

Price asabye nti okunonyereza okwanamaddala kukolebwe, ku bikolwa bino.

Wabula waddenga asiimye omulimu ogukoleddwa pulezidenti Museveni negwanga Uganda okutebenkeza Somalia nekitundu kyobuvanjuba bwa Africa, naye bakuteeka ku mwanjo ensonga ezaabwe era enkulu.

Bino webijidde ngakulembera ekibiina kya NUP Robert Kyagulanyi, agenda kujjayo omusango mu kooti ensukulumu ogubadde guwakanya okulondebwa kwa Museveni.

Alumiriza Ssabalamuzi w egwanga Owinyi Dollo, obwa kyekubiira.