Amawulire

Amaziga mu kuziika aba crestfoam

Ali Mivule

March 16th, 2015

No comments

Crestfoam bodies

Abakulembeze b’ennono okuva e Tororo balabudde poliisi ku ky’okukulembezaamu engeri y’okulwanyisaamu muliro mu kifo ky’okubawa ebisingawo ku kunonyereza

Okulabula kuno kukoleddwa katikkiro w’aba Japadhola bw’abadde mu kusabira abaafiira mu muliro ogwakwata kkampuni ya Crestfoam nga kuno kubadde ku kkanisa ya our Lady of Africa Church Mbuya.

Kiddiridde atwala poliisi enziinya mooto Joseph Mugisa okutandika okusomesa abafiirwa ku ngeri y’okulwanyisaamu omuliro yadde nga babadde balinze alipoota ya kitongole kino.

Bano basabye Mugisa okussa ekitiibwa mu b’enganda zaabwe ng’afulumya alipoota gyebaakola

Aba japadhola ababeera mu kampala beebategese okusaba kuno ku eklezisa ya Kireka kyokka nebagaana okubasabira kubanga omu ku bagenzi abadde mukulisitaayo

Basazeewo okukyusa okusaba okudda e Mbuya gyebasinzidde okusaba ebyava mu kunonyereza ku muliro guno okufuluma