Amawulire

Amazaalibwa Museveni awaddeyo emmotoka, katikkiro aweze ku ttofaali

Ali Mivule

April 13th, 2015

No comments

KAbaka cuts cake 2

Pulezidenti Museveni awaddeyo emmotoka ng’ekirabo eri Ssabassajja Kabaka ku mazaalibwa ge ag’emyka 60.

Emotoka kika kya Land cruiser VX nga nzirugavu era ejiddeko ebbaasa kyokka ng’ebijibaddemu tebyogeddwa .

Emotoka eno eyanjuddwa amyuka omukulembeze w’eggwanga Edward Kiwanuka Ssekandi akiikiridde gavumenti ku mikolo gy’amazaalibwa mu Bulange Mengo.

Mu kwogera kwe Kamalabyonna wa Buganda owek Charles Peter Mayiga atenderezza omutanda olw’ensigo y’obumu gy’asize mu bantu nga kwekutambulira omwoyo gwa Buganda ogutafa

Mu ngeri yeemu Katikkiro ajjukizza abaganda ku bukulu bw’okunyweeza Namulondo.

Mu ngeri yeemu abantu ab’enzikiriza ez’enjawulo bakubiriziddwa okukwatira awamu okulwanyisa ekisaddaaka baana wano mu ggwanga.

Nga asabira emikolo gy’amazaalibwa ga ssabasajja ag’emyaka 60 egy’obuto, Omulabirizi w’obulabirizi bwe Namirembe Rt.Rv  Bishop Wilberforce Kityo Luwalira aloopedde ssabasajja nga ekisaddaaka baana bwekisitudde enkundi.

Bisho Kityo Luwalira ategezezza nga abantu abamu bwebalemedde ku nzikiriza ezirimu okusaddaaka emiti emito ky’agamba nti kisobola okukoma nga bakwatidde wamu.

Wano w’asabidde abakulembeze b’ennono bonna okuvaayo bavumirire ebikolwa nga bino okutaasa abakulembeze ab’enkya.

Omulabirizi era asiimye nyo  Katikiro wa Buganda Charles Peter Mayiga  olw’obutakoowa kukunganya ttoffaali kuzza Buganda ku ntikko era n’alabula abaseketerera enkola eno.

Abantu ab’enjawulo okuva ebule n’ebweya bagumidde embeera yonna okuberawo ku mazaalibwa g’omutanda.