Amawulire

Amazaalibwa g’omutanda- abalala bayambyeeko

Ali Mivule

March 12th, 2015

No comments

Kabaka again 2

Aba Kampuni etegeka ebivulu eya Events Warehouse ewaddeyo Cheeke  ya bukadde 35 ku kudduukirira emisinde gy’amazaalibwa ga Ssabasajja Kabaka wa Buganda Ronald Muwenda Mutebi ag’emyaka 60 egy’obuto.

Emisinde gino gyakubeerawo omwezi ogujja, okutandikira ku lubiri e Mengo, era nga Tikiti zitundibwa okuva mu bifo ebyenjawulo omuli e Bulange Mengo, mu maduuka ga Airtel wamu n’ebifo ebirala.

Bw’abadde akwata Cheeke eno minisita wa Buganda ow’emizanyo n’abavubuka Herny Kiberu Ssekabembe, asabye amakampuni amalala, okuyamba ku Buganda mu nteekateeka zona z’erina.

Ssekabembe agambye nti ensimbi ezinaava mu misinde gino zakwongera okulwanyisa ekirwadde eky’ekikulukuto mu bakyala,wamu n’okusomesa abaana nga babawa zi basale.

Kinajukirwa nti omwaka oguwedde obuganda bwaddukirira eddwaliro lye Kitovu mu masaka n’obukadde 50 ez’okulwanyisa ekirwadde kino.