Amawulire

Amateeka ku Bodaboda- abasabaaze bakukwatibwa

Ali Mivule

March 25th, 2014

No comments

BODA CYCLISTS

Mu kawefube w’okukendeeza obubenje bwa bodaboda mu kibuga, poliisi evuddeyo n’amateeka ga boda zino amakakali.

Kati owa boda anakwatibwa nga atisse omuntu asukka mwomu wakusasula engassi ya Mitwalo 20 oba okusibwa emyaaka 2 nga n’abasaabaze abanakwatibwa ku pikipiki eno nabo bakufuna ekibonerezo kyekimu.

Abatikka bodaboda akabindo nabo bakubonerezebwa.

Aduumira poliisi mu kampala n’emiriraano , Andrew Felix Kaweesi agamba kino kigendereddwamu kukendeeza ku bubenje bwa boda zino n’okutereeza entambula yaazo.