Amawulire

Amateeka ku baana getaaga kukyusibwamu

Ivan Ssenabulya

July 17th, 2018

No comments

Bya Benjamin Jumbe ne Ivan Ssenabulya

Akakiiko eke ddembe lyobuntu mu gwanga aka Uganda Human Rights commission kagala amateeka, ku nsonga zabaana gakyusibwemu.

Bwabadde afulumye alaipoota ekwata aku ddembe lyabaana namateeka akulira ebyokulondoola amateeka mu kakaiiko Ruth Sekindi agambye nti amateeka 37 getaaga okuyusibwamu.

Uganda amu mwaka gwa 1990 yateeka aomukono ku ndagaano eyekibiina kyamawanga amagatte okukuuma abaaana.

Ate mungeri yeemu abantu obutamanyisibwa kimala mu gavumenti ezebitundu kinokoddwayo ngekiviriddeko, abantu ba wansi obutetaba mu buwereza ne ntekateeka za gavumenti.

Kino kirabikidde mu alipoota, efulumiziddwa aba Initiative for Social and Economic Rights etongozeddwa olwaleero wano mu Kampala.

Alipoota efulumye yavudde mu kunonyereza okwe myaka 3, mu district okuli Bushenyi, Kyenjojo, Kayunga, Iganga, Mable ne Kumi.

Alipoota eraze nti abantu bangi tebamanyi bigenda mu byenjigiriza, ebyobulamu, ebyamazzi nebiralala ebikwata ku buwereza.

Bwabadde atongoza alipoota eno ssentebbe wakakiiko ke ddembe lyobuntu mu gwanga Medi Kaggwa alaze obukulu bwenkiiko okutesanga amu nnimi ennansi, abanatu mu bitundu zebategeera.