Amawulire

Amateeka gakwongera okumyumyulwa eri abafuluma eggwanga

Amateeka gakwongera okumyumyulwa eri abafuluma eggwanga

Ivan Ssenabulya

October 4th, 2021

No comments

Bya Benjamin Jumbe,

Omukulembeze weggwanga Museveni ategezeza nga gavt bweri mu kukola kukyokwongera okumyumyula amateeka eri abannauganda abafuluma eggwanga

Ono okwogera bino abadde ayanukula okwemulugunya kwa bannauganda abali United Arab Emirates nga bagamba nti bannauganda bangi abakukusibwa okweyingira ensi eyo.

Enkya ya leero museveni asisinkanyemu abakulembeze ba bannauganda abawangalira mu United Arab Emirates, wansi wekibiina kyabwe KI Association of Ugandans living in United Arab Emirates (AUU) nga bakulembedwamu Abdulbasit Nsubuga.

Pulezidenti abawadde amagezi okukunga banabwe abatali bawandiise mu kibiina kino okubegattako nga bawaayo akasente okuyita mu kwewandiisa basobole okufuna ensimbi ezinaddukanya ekibiina kyabwe

Era abawadde doola za America emitwalo 100 bazongere mu kibiina kyabwe na basuubiza nobuyambi okuva mu gavt

Ambassador wa Uganda mu UAE, H.E Zaake Kibedi agamba nti bannauganda emitwalo 60 bebabera nokukola mu ggwanga lya United Arab Emirates.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *