Amawulire

Amateeka amakakali ku bajulizi

Ali Mivule

May 30th, 2014

No comments

Kaweesi 2

Poliisi evuddeyo n’amateeka amakakali ku by’okwerinda ng’ebula mbale olw’abajulizi lutuuke

Abatunda ebintu ebitali bimu babaweze okuyingira mu biggwa ate nga ne pikipiki nazo ssizakukkirizibwa kumpi n’ebiggwa

Ate bbo abantu ba bulijjo nabo bagaaniddwa okuyingiza eby’okulya mu biggwa .

Poliisi era etaddewo  abasirikale abali mu yunifoomu n’abatazirina okulaba ntu tewabaawo bulumbaganyi bwa kika kyonna.

Kino kkyo kikoleddwa okwerinda abatujju abasiiba beesoma okulumba Uganda.

Aduumira poliisi mu kampala an’emiririraano, Andrew Felix Kaweesi agamba nti kino kikoleddwa kulaba nti tewabaawo kavuyo konna

Bbo abantu bakyagenda mu maaso n’okweyiwa ku biggwa nga n’abasuubuzi batandise okukola

Buli lwa nga 3 omwezi ogw’omukaaga abakiristu balamaga e Namugongo okujjukira abajulizi abafiirira eddiini.

Omusasi waffe Moses Ndaye ali Namugongo k;atubuulire embeera nga bw’eri.