Amawulire

Amataba gakubye ab’eKisoro

Amataba gakubye ab’eKisoro

Ivan Ssenabulya

January 25th, 2022

No comments

Bya Benjamin Jumbe

Abantu 5 bateberezebwa okuba nga bebafudde atenga omuwendo ogutanaba kukakasibwa tebamanyikiddwako mayitire, oluvanyuma lwamataba agakubye disitulikiti ye Kisoro akawungeezi keggulo.

Mu lukiiko olutudde mu Kabuga ke Gasiza mu gombolola ye Nyarusiza abatuuze balaze okutya ku mbeera ya banaabwe abatanalabika, okuva olunnaku lweggulo.

Kisiburwa nti bangi abafiridde mu njega eno obanga nabamu bakyakwamidde mu bifo ebyobulabe nga betaaga buyambi.

Omwogezi wekitongole ekiddukirize ekya Uganda Red Cross nga ye Irene Nakasiita agambye nti amazzi gakulukuse okuva ku lusozi Mahabura negatwala amayumba gabantu agawerako.

Ono atubuliidde anti bakwataganye namagye gegwanga aga UPDF, poliisi nakakiiko ka disitulikiti akavunanyizbwa ku bibamba okwetegereza embeera okulaba engeri yokubayambamu.