Amawulire

Amasomero ga gavumenti tegalina byapa

Ivan Ssenabulya

May 24th, 2018

No comments

Bya Ivan Ssenabulya

Minisiita w’ebye’njigiriza mu munisipaali ye Mukono nga ye mumyuka wa mayor Jamadah Kajooba mweralikirivu olwamasomero ga gavumenti okuba nti tegalina byappa ku ttaka kwebatudde.

Amassomero gano agamba nti kuliko Kati P/S e Katikkolo, Ngandu P/S e Ngandu, Lwezza P/S e Wantoni-Lwezza ne
Kiwanga UMEA erisangibwa e Nantabuulirirwa.

Kajoba agambye nti amassomero gano galekedde okusanawo, ngasabye gavumenti okuyingira mu nsonga eno.