Amawulire

Amasimu gagyiddwa ku mpewo

Ali Mivule

August 5th, 2013

No comments

simcard registration again

Amasimu g’abantu abatannawandiisa masimu gaabwe gasalidwaako.

Omwogezi w’akakiiko akakola ku byempuliziganya, Fred Otunnu agamba nti bakkiriza kkampuni z’amasimu okuggyako amasimu gano okuzuukusa ababadde beebase.

 

Otunnu agamba nti nsalessale eyaweebwa abantu okuwandiisa amasimu gaabwe eggwaako nga 31st omwezi guno era nga abanaaba tebannaba kwewandiisa bakugyibwa ku mpewo.

Abagyiddwaako bagenda kumala essaawa 12 nga tebasobola kukuba yadde okufuna amasimu oba obubaka.