Amawulire

Amasanyalaze gavuddeko ku kisaawe

Amasanyalaze gavuddeko ku kisaawe

Ivan Ssenabulya

September 30th, 2021

No comments

Bya Eva Muganga

Uganda Civil Aviation Authority banyonyodde ku kibululu ekyabadde ku kisaawe Entebbe, akawungeezi keggulo.

Okusinziira ku akulira emirimu gyekitongole nabebweru Vianney Luggya amasanyalaze ddala gaavuddeko.

Kino agambye nti kyavudde ku waaya eziyita wansi zebakyadabiriza, nga zezitwala amasanyalaze okutuuka ku amtaala agali ku kisaawe.

Ekizikiza ekyabadde ku kisaawe, kitegezeddwa nti kyenkana kyabadde kiviriddeko akabenje, ennyonyi ya Uganda Airlines bweyabadde etonnya ku kisaawe okuva mu kibuga Mogadishu.