Amawulire

Amasanyalaze gasse abaana 2

Amasanyalaze gasse abaana 2

Ivan Ssenabulya

September 29th, 2021

No comments

Bya Ivan Ssenabulya, 

Entiisa ebutikidde abatuuze ku kyalo Mubono mu gombolola ye Mukhuyu mu disitulikiti ye Namisindwa amasanyalaze bwegakubye abantu 2 negabatta.

Kuno kubaddeko Munika Catherine owemyaka 36 ngafudde nomwana we owemyaka 7 Soafia Naume.

Okusinziira ku mwogezi wa poliisi mu kitundu kya Elgon Rogers Taitika, kigambibwa amasanyalaze agabadde gabbibwa  gegabakubye.

Taitika alabudde abantu beno bakomye okubba amasanyalaze.