Amawulire

Amasanga gabakwasizza

Ali Mivule

May 2nd, 2017

No comments

Bya Ali Mivule

Poliisi mu disitulikiti ye Kitgum ekutte abantu 4 ne kilo z’amasanga g’enjovu kilo 61 nga gabalirwamu wakati w’emitwalo ana n’ataano.

Bano baakwatiddwa ku kyalo Akilok nga era eyakuliddemu ekibinja kino Okong David amanyiddwa nga Ojara y’ategezezza nga amasanga gano bwe baagajje mu kkuumiro ly’ebisolo erya Kidepo valley national park.

Atwala poliisi ye Kitgum ow’ekiseera Jimro Oselle ategzezza nti abantu beeno tebatera nyo kuyiga bisolo byamunsiko era bano beebamu ku batono ababitandikirizza.

Wano w’asabidde abantu bonna okwewalira ddala okuyigga ebisolo byomusniko kubanga kimenya mateeka.

Okusinziira ku b’ekibiina kyensi yonna ekirwanyisa abayigga abisolo byomunsiko ekya  International Union for Conservation of Nature, buli mwaka enjovu 30,000  zezitibwa okuzigyako amasanga gaazo nga okusinga akatale kale mu mawanga ga ssemazinga wa Asia gyebagakoleramu eby’okwewunda n’eddagala .