Amawulire

Amannya g’ababazi b’ebitabo agamu mafu

Amannya g’ababazi b’ebitabo agamu mafu

Ali Mivule

June 22nd, 2015

No comments

Kagaba

Ab’ekibiina ekirwanyisa obuli bw’enguzi ekya  Anti-corruption Coalition Uganda baagala olukalala lw’ababazi b’ebitabo olwawereddwayo gavumenti eri palamenti okukakasibwa lusazibwemu.

Nga ayogerako ne bannamawulire amakya galeero, akulira ekibiina kino Cissy Kagaba ategezezza nga olukalala luno bwekuliko amanya g’ababazi b’ebitabo abanokolwayo ssababalirizi w’ebitabo bya gavumenti nti betaba mu kubulankanya ensimbi.

Okusinziira ku tteeka erikwata ku ngeri ssente gyazirina okukwatibwamu mu bitongole bya gavumenti erya Public Finance Management Act 2015, gavumenti erina okuwaayo amanya gaabo abamaze okubuulirizibwako nga bagekenenyezza bulungi.

Kagaba agamba nti etteeka era likirambika bulungi nti amanya gano galina kuweebwayo nga embalirira y’eggwanga tenayisibwa ky’agamba nti kino kyanyomoolwa dda.

 

Kagaba agamba ebimu ku bitongole bya gavumenti ababalirizi bano gyebalina okukolera kuliko minisitule y’ebyobusuubuzi n’eyebyenjigiriza, ettendekero ly’eMakerere n’ebirala.